Select Page
#185
Free Uganda
Keymaster

ENTAWETTWA YA KABAKA

Bassebo ne Bannyabo,
Bwembadde neetegerezza akatambi akalaga ebyaaliwo nga 24/05/1966, Mw. Milton Obote bwe yalumba Olubiri lwa Kabaka waffe Sir Edward Mutesa II, nkizudde nti Entawettwa ya Kabaka teyaliiwo mu mwaka gwa 1966. Mbuuzza, Entawettwa ya Kabaka yawaangibwaawo mwaka ki? Baani abaawoma omutwe mukuteekawo Entawettwa? Tweebazza nnyo abantu mwena n’ebittongole abadaabiriza Entawettwa ya Kabaka kubanga eraga ekitiibwa n’obusukulumu bwa Kabaka mu Buganda ne Uganda eyawamu.
Wangaala nnyooo Mukama waffee Ayi Ssabasajja Kabaka wa Buganda. Wangaala nnyo Obwa Kabaka bwa Buganda! Mwebale nnyo.

Uganda